Amawulire
Museveni akakasizza okuggulawo Amasomero
Bya Musasi Waffe
Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni akakasizza banna- Uganda nti amasomero gonna gagenda kugulwawo nga 10 January 2022, ngokugema abantu bwekugenda mu maaso mu gwanga.
Bino abyogeredde ku mukolo ogwokutongoza essomero lya Keihangaara Secondary School erisangibwa mu gombolola ye Keihangaara mu disitulikiti ye Ibanda.
Mu kino abadde ayanukula abamu ku bantu abatandise okulaga okutya kwebalina ku mbeera yamasomero agamaze emyaka 2 nga maggale, mu kiseera kino ngobulwadde bwongedde okwejiriisa.
Abakugu mubynefuna basabye omukulembeze wegwanga, obutagoberera okuwabula okwakoleddwa gyali okuva mu bakugu naye aggulewo ebyenfuna.
Mu nisisinkano omukulembeze wegwanga gyeyabaddemu ku Bbalaza nolukiiko olulwanyisa ssenyiga omukambwe, mu maka ge’ Rwakitura, mu distulikiti ye Kiruhura bano bawabudde nti agira alindako okuggulawo egwanga lyonna, okusooka okwetegereza embeera nga bwenabeera.
Kati omukulembeze wegwanga alindiriddwa okulungamya ku kiddako, mu kwogera kwe okunaggalwo omwaka.