Amawulire

Obubaka bwa ssabasajja obwa sekukkulu

Ali Mivule

December 21st, 2013

No comments

KAbaka cuts cake 2

Ssabasajja kabaka wa Buganda asabye abaganda okwekuuma nga bali bumu.

Mu bubaka bwe obwa sekkukkulu eri Obuganda, ssabasajja agambye nti mu kusoomozebwa okutali kumu, obumu kikulu nnyo.

Obubaka buno ssabassajja kabaka obusundise eri abantu ng’ali ku mukolo gw’okutongoza enyimba za sekukkulu mu bulange emengo

Agambye nti omwaka tegubadde mwangu kyokka nga buli muntu asaanye okusiima omutonzi kuba mulamu.