Amawulire
Abasoba mu 1000 beebakafa mu South Sudan
Olutaalo mu ggwanga lya South Sudan lukyagenda mu maaso n’okukwajja era nga terutarizza bantu ba bulijjo.
Okusinziira ku kibiina ky’amawanga amagatte , abantu abasoba mu lukumi beebakafiira mu kulwana okuli wakati w’amaggye ga gavumentui n’ago agawagira eyai amyuka omukulembeze w’eggwanga lino Riek Machar
Kati akola ku byokwerinda mu gavumenti y’ekisikiriza, Fungaroo Kaps Hassan agaba nti abantu ba bulijjo bandibadde batalizibwa
Fungaroo agamba nti enjuuyi zombie ziruina kulafubana kulaba nti zikuuma abantu nga tebakoseddwa mu kifo ky’okubalumba
Ggo amaggye ga Uganda agali mu lutalo gano tegaannafunako bulabe bwonna.
Omwogezi wa minisitule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga, Fred Opolot agaba nti abajaasi bano tebali mu lutAlo nga bbo ogwaabwe gwakutaasa bannayuganda n’abantu abalala abakoseddwa.