Amawulire

Tayebwa alabudde aba NRM ku ky’okujjamu Jim Muhwezi obwesige

Tayebwa alabudde aba NRM ku ky’okujjamu Jim Muhwezi obwesige

Ivan Ssenabulya

February 11th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Nampala wa gavumenti asabye ababaka ba NRM, obutateeka mikono ku kiwandiiko ekyagala okujjamu minisita webyokwerinda byegwanga obwesige.

Ab’oludda oluvuganya gavumenti baatandise okukungaanya emikono, okujjamu minisita Maj Gen Jim Muhwezi obwesige, bagamba nti alemereddwa okumalawo ebikolwa ebyokutulugunya abantu nebirala ebityoboola eddembe lyobuntu.

Mu bbaluwa gyeyawandikidde akabondo kekibiina, Thomas Tayebwa agambye nti ekiteeso kino kirimu ebyobufuzi era kirubiridde kunafuya gavumenti ya NRM.

Kino agambye nti bagala kukikola nga batatana banakibiina abagundiivu, nga basaanye bino babyesambe.

Agambye nti okutulugunya ssi nkola ya gavumenti, era tebakuwagira.