Amawulire

Kanso eyawamu egenda kutuula okukungubagira Oulanyah

Kanso eyawamu egenda kutuula okukungubagira Oulanyah

Ivan Ssenabulya

April 7th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omukulembeze wegwanga Yoweri K Museveni asabye banna-Uganda okubeera ku mwanjo mu mirimy eginakulakulanya egwanga.

Museveni bino yabyogeredde mu kusabira omugenzi Jacob Oulanyah, abadde sipiika wa palamenti eyomulundi ogwe 11 okwabadde e Kololo akawungeezi keggulo.

Agambye nti kinabeera kikulu nnyo abantu okutwala Oulanyah ngekyokulabirako, emirimu gye ne nono zabadde nazo okusobola okugenda mu maaso.

Agambye nti era abantu tebasaanye kwekolerere bokka naye, bakolere abaana baabwe negwanga awamu.

Omulambo gwa Oulanyah olunnaku lweggulo gwatereddwa ku nnyonyi negutwalibwa ku butaka mu disitulikiti ye Omoro.

Omugenzi agenda kusikibwa olunnaku lwenkya ku kyalo Ajuri mu muluka gwe Jaka, gombolola ye Lalogi mu disitulikiti ye Omoro.

Mungeri yeemu, olukiiko olwawamu, olwazi gavumenti ezebitundu mu kitundu kya Acholi, West Nile ne Lango lugenda kutuula olwaleero okukungubaga nokusiima emirimu gyabadde Sipiika wa palamenti Jacob Oulanyah.

Okusinziira ku ssentebbe wakabondo kababaka abava mu Acholi omubaka Anthony Akol, agambye nti abakiise okuva mu disitulikiti eziri mu bitundu bino bagenda kutuula mu maka gomugenzi mu lutuula olwenjawulo olugenda okuberawo olunaku lwaleero.

Kino era agambye nti kigenda kuwa omukisa abantu bomukitundu okukngubaga, nokubaako byebogera ku mugenzi.

Mungeri yeemu, Akol ategezezza ngeyali Ssabalabirizi wekkanisa ya Uganda Luke Orombi bwajja okukulemberamu okusabira omugenzi, bwebanaaba bamwuwerekera okumutuusa mu nnyumba ye, eyoluberera olunnaku lwenkya.

Emizinga gyemmundu 17 gyegigenda okukubwa mu kuziika olunnaku lwenkya.