Amawulire

Uganda nate teraze ludda mu UN

Uganda nate teraze ludda mu UN

Ivan Ssenabulya

April 8th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Uganda, nate yalonze netaraga ludda mu lutuula lwekibiina kyamawanga amagatte olwenjawulo, bwebabadde bagoba Russia okuva mu kakiiko akekibiina kyamawanga amagatte akeddembe lyobuntu aka UN-Human Rights Council.

Omubaka wa Uganda owenkalakkalira mu kibiina kyamawanga amagatte, Amb. Adonia Ayebare ayise ku tweeter nakakasa nti Uganda ekyasigadde nampa wengwa mu nsonga zolutalo lwa Russia ne Ukraine.

Agambye nti wbasibidde kwekusaba waberewo enteseganya, ezinakomya olutalo.

Mu lutuula olwenjawulo, olubaddewo akawugeezi akayise, ba memba bekibiina kyamawanga amagatte 93 balonze nebawagira okugoba Russia, 24 bebatakiwagidde atenga amawanga 58 gasazeewo butalaga ludda.

Uganda, kinajjukirwa nti yeemu ku mawanga ga Africa 17 era agalonda obutalaga ludda, mu lutuula lw’ekibiina kyamanga amagatte olwenjawulo olwaliwo omwezi oguwedde, bwebaali bayisa ekiteeso ekivumirira, ekyakolebwa Russia okulumba egwanga lya Ukraine.