Skip to content Skip to footer

Ateberezebwa okubeera omubbi bamusse

Bya Ivan Ssenabulya

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Namubiru e Mukono, abantu abatanategerekeka bwebakakanye ku muntu gwebeteberezza okubeera omubbi wa pikipiki nebamukuba emiggo, okutuusa lwasizza ogwenkomerere.

Okusinziira ku batuuze, omugenzi bazze bamuwondera ng’olumukutte nebamukuba okutuusa lwafudde.

 Akulira abagoba ba boda boda mu kibuga Mukono Sulaiman Kiwanuka

ne Ssabawandiisi, ku bukulembeze bwa boda boda mu Mukono Mutebi Deo balaze okutya olw’obubbi n’obutemu obususe mu kitundu.

Poliisi ye Mukono ezze negyayo omulambo negutwalibwa mu gwanika, okwongera okwekebejjebwa.