Amawulire

Gavt siyakwongera kunsimbi ezókuliyirira abakosebwa ku ttaka lya Nakawa-Naguru

Ivan Ssenabulya

April 23rd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minisita owebyettaka Judith Nabakooba alemedeko agamba nti abatuuze abaali ku ttaka eririko enkayana erya Nakawa-Naguru gavt  tegenda kubongera yadde omunwe gwennusu olwokubasengula ekilakulanye ekifo kino.

Ono agamba nti abapangisa ku ttaka lino sente zokubaliyirira gavt yazitegeka dda era tewali ngeri abagala okubongera ensimbi gyebayinza okukikolamu.

Mu ssabiiti eno abakakiiko akanonyereza ku mivuyo egiri kuttaka lino basisinkana ekibiina omwegatira abantu abaali ku ttaka lino ne babategeza nti bbo sibeetegefu kutwala bukadde 17 gavt zeyabasuubiza okubawa.

Wabula minisita we byettaka agambye nti abantu bano basanye bagende ne kiriwo kuba entekateeka eyokubasasula ensimbi endagane egenda mu maaso.