Skip to content Skip to footer

Avuganya Kagame alumbiddwa

Nyamwasa survives

Eggwanga lya South Africa ligobye ababaka aba Rwanda basatu nga kiteberezebwa nti bano baliko kyebamanyi ku kuluma okwakoleddwa kw’omu ku bavuganya gavumenti ya Paul Kagame

Ne Rwanda nno nayo eyasimudde egoba abakungu ba South Africa 6 ababadde mu ggwanga lino.

Kino kiddiridde abasajja ababadde bakwaataganye n’emmundu okulumba amaka ga Kayumba Nyamwasa ng’ono tebaima kaambugu na Kagame

Ekirungi nti obulwabaganyi buno webwakoleddwa nga Nyamwasa tali mu maka ge

Wabula abatemu bano batutte ebintu ebitali bimu omuli kompyuta n’ebiwandiiko.

Gen Nyamwasa yakalumbibwa emirundi ebiri nga bagezaako okumutta.

Mu mwaka 2010 bamukuba amasasi kyokka n’alama.

Leave a comment

0.0/5