Amawulire

Omufere asindikibbwa mu Komera

Omufere asindikibbwa mu Komera

Ivan Ssenabulya

April 23rd, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omugoba wemotoka atemera mu gyobukulu 30 agambibwa okuba nti abadde afera abantu nabanyagako ensimbi nga abasuubiza okubafunira emirimu ebweru gamumyukidde mu kaguli.

Hussein Katonga mutuuze we Busega, Rubaga mu Kampala asimbiddwa mu maaso gomulamuzi weddaala erisooka owa kkooti eya City Hall mu kampala Valerian Tumuhimbise namusomera emisango gyeyegaanye.

Kigambibwa nti Kato ne banne mu December wa 2021 e Kikaaya central zone bekobaana nekigendererwa ekyokubba akakadde kamu mwemitwalo 70 okuva eri Eseza Namatovu nga bamusubiziza okumufunira omulimo ebweru.

Ono wakudda mu kkooti nga May 8th 2022 okwongera okuwulira omusango gwe.