Amawulire

Bannamagoye balajanidde Gavt

Bannamagoye balajanidde Gavt

Ivan Ssenabulya

May 20th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Banamagoye mu ggwanga lino bazzemu okusaba Gavumenti okugya omusolo ku bintu bye bakozesa okukuuma ensusu zabwe obutafuna birwadde naddala kokolo wólususu.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu kampala, Melanie Mataaga, Project Assistant, wékibiina ki Source of the Nile Union of persons with Albinism, agambye nti obulwadde kwa kokolo w’olususu kyekimu ku kisinga okutta banabwe olwokulemererwa okufuna obujanjabi olwomusolo omungi oguli ku ddagala lye balina okukozesa.

Mataaga era ategezeza nti Uganda erina ekyuma kya cryogen kimu kyokka e Jinja ekikebera obulwadde bwa kokolo mu banamagoye abasoba mu 5000 abali mu ggwanga lyona.