Amawulire
Abasawo abakafa Ebola baweze bana
Bya Mike Sebalu,
Ministry y’eby’obulamu elangiridde okufa kw’omusawo owókuna nga bonna bafa ekilwadde ki Ebola.
Okusinziira ku Minister w’eby’obulamu Dr Jane Ruth Acheng; Margret Nabisubi akulungudde ennaku 17 ng’atawanyizibwa ekilwadde ki Ebola wali mu dwaliro e FortPortal.
Minister ategeezezza nga ono bwafuuse omusawo 4 abadde mu lutalo lw’okulwanyisa Ebola okufa okuva ekilwadde ki Ebola lwekyabalukawo mu bitundu eby’e Mubende.
Abalala abaafa kuliko omusawo omuzaalisa, Dr Ali Mohamad gattako n’omusawo omulala okuva mu bitundu ebye Kagadi.
Kati omugatte gw’abantu abakafa Ebola gulinnye nga baweze 10 ate nga abakwatiddwa bali 43 webutuukidde olwa leero.