Bya Ndaye Moses.
Government eriko obuyambii obuzitowa tani 120 obwemere n’ebirara byewerezza eri abantu ababundabunda olw’amataba mu bitundu bye teso.
Bwabadde awereze ebintu bino, minisita omubeezi akola ku bigwa tebiraze Musa Echweru agambye nti abantu abasoba mu 20,000 bebasenguddwa olw’amataba agatuuse mu bitundu nga Katakwi, Bukedea,Amuria ne Ngora district .
Ebibawereddwa kuliko akawunga, ebijanjaalo,amatundubaali ko n’ebirara.
Ono agambye nti gavumenti yateeka kubbali obuwumbi 2 nga zino zakudukirira abali mu mitawaana nga gino