Amawulire
Poliisi erabudde abazadde ku Bafere
Bya Mike Sebalu,
Poliisi elabudde abakulembeze b’amasomero ku bufere obw’okukusa abaana obubaluseewo okwetoloola ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Olunaku lwa ggyo, amasomero gazzeemu mu butongole okusoma okwetoloola wonna wabula nga abazadde emitima gibali ku mutwe olw’ebikorwa eby’obusiwuufu bw’empisa ebiteeka obulamu bw’abaana mu matigga.
Wabula ayogerera Poliisi mu gwanga Fred Enanga leero bw’abadde ayogerako eri ab’amawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru ategeezezza nga bwewaliwo ebikorwa eby’obufere n’okukusa abaana oluvanyuma lw’okukwata omu basajja ababadde benyigidde mu kufera abazadde buli ntandikwa ya buli lusoma.
Enanga era ayogedde ne ku kikwekweto ekyafuuzizza abawandisa abantu mu bikorwa eby’ekiyekera ng’eno banunudde abaana 59 abaabadde bakuumibwa mu nkambi eteberezebwa okubeera eya ADF mu kitundu ekye Butalejja.