
Nga buli omu yetegekera akalulu ka 2016 abakyala nabo tebasigadde mabega era bavuddeyo ne manifesito yeebyo byebaagala okuva eri abesimbyewo mu kulonda kwa bonna okwa 2016.
Manifesito eno baagikoze oluvanyuma lw’okwebuuza ku by’obufuzi nga era ezingiramu ebibiina by’obufuzi byonna.
Akulira ekibiina kya Uganda Women’s Network Ritah Aciro agamba basunsudde ensonga eziwerako zebaagala buli asaba akalulu okubasuubiza.
Sipiika wa palamenti Mukwala Rebecca Kadaga y’asuubirwa okubeera omugenyi omukulu nga okutongoza enteekateeka eno kwakubeera wali ku yunivasite ye Makerere.
Wajja kusooka kubeerawo kukumba okuva ku Uganda Museum.