Skip to content Skip to footer

Poliisi esazeeko amaka ga Dr Besigye

File Besigye nga alwanagana ne police
File Besigye nga alwanagana ne police

Poliisi esazeeko amaka g’eyali  senkaggale w’ekibiina kya FDC  Dr. Kiiza Besigye .

Agava e Kasangati galaga nga poliisi bw’ezibye amakubo gonna agadda e wa Besigye nga ono abadde asuubirwa okutongoza kampeyini ze ez’okukwatira ekibiina kya FDC bendera mu kulonda kwa pulezidenti okw’omwaka ogujja nga olweggulo asuubirwa Kawempe ku growers.

Wabula Besigye aweze nti essaawa bwenatuuka wakufuluma agende mu maaso n’enteekateeka ze.

 

Ye bwebavuganya era ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu asuubirwa okutongoza kampeyini ze ku lwomukaaga luno wali e Kabaale.

Leave a comment

0.0/5