Skip to content Skip to footer

Kadaga akungubagidde ab’afiiridde mu mataba

Bya Kyeyune Moses

Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga enjega omwafiridde abantu 17 mu mataba mu Busoga akitadde ku kitema miti, mu kitundu kino ne mu ggwanga okutwaliza awamu.

Mu kiwandiiko kyafulumizza omubadde obubaka bwe Kadaga agambye nti ekitema miti kigwanidde okukoma abantu betanire okusimba nga emiti okukuuma obutonde.

Kino kyadiridde nnamutikwa w’enkuba omwabadde kibuyaga eyatonnye mu district ye Buyende ne mu bitundu bya Kamuli, omwafiridde abantu 17 n’abalala ne babuuka n’ebisago eby’amanyi.

Mu gombolola ye Kidera e Buyende abantu 13 bebafudde, abantu 3 baafiiridde mu kitundu kye Balawo ne Namasagali omuntu omu.

Kadaga era akubye omulanga nti abantu bano betaaga obuyambi n’okudukirirwa okwenjawulo.

Kinajjukirwa nti sipiika abadde yakadde okuva mu kibuga Nairobi, mu gwanga lya Kenya gy’abadde ajanjabirwa, ng’asuubirwa okudda ku mirmu olunaku lw’enkya.

Leave a comment

0.0/5