Ivan Ssenabulya
Poliisi mu district ye Masaka etandise okunonyereza kungeri abaziisi, gyebatwalidde amateeka mu ngalo, nebatta muziisi munaabwe.
Omugenzi ye Bill William Ochieng ngabadde musawo mu kitundu ekyo.
Ono yabadde agenze kwetaba my kuziika omugoba wa boda boda Nsereko Yasin, gwebakuba enyondo mu gandaalo lya sabiiti.
Bino byabadde ku kyalo Kabanera mu district ye Masaka.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu Lameka Kigozi, Bill William yabadde agezaako okuteeka pamba mu nyindo zomugenzi, abatuuze kwekumulumba nebamukuba okutuusa okumutta, nga bamulumiriza obulogo.
Poliisi egamba nti okunonyereza kugenda mu maaso, nokuyigga abantu bonna abatwalidde amateeka mu ngalo.