Bya Ivan Ssenabulya.
Omubaka wa munispaali eye Mukono Betty Nambooze Bakireke aweze okuwakanya ekyo’kuggala amasomero mu kitundu kye ng’agamba nti kigendereddwamu kunyigiriza omuntu omunaku.
Kinajjukirwa nti amasomero agali mu 10 gegaddwa wiiki ewedde olw’obutatukiriza bisanyizo, nga bassa mu nkola ekiragiro kya ministry y’ebyenjigiriza.
Omubaka Nambooze agamba nti kino kyabulabe era abantu bakufirwa emiriimu mingi atenga gavumenti eremereddwa okutondawo emirimu mu gwanga.