Amawulire

Ababaka Ssegirinya ne Ssewanyana kyadaaki bayimbuddwa ku kakkalu ka Kkooti

Ababaka Ssegirinya ne Ssewanyana kyadaaki bayimbuddwa ku kakkalu ka Kkooti

Ivan Ssenabulya

February 13th, 2023

No comments

Bya Malik Fahad,

Ababaka ba Palamenti, okuli Allan Ssewanyana owa Makindye West ne Muhamad Ssegirinya owa Kawempe North kyaddaaki beeyimirirwa mu kkooti.

Ababiri bano abamaze omwaka mulamba n’okusobyo ku alimanda ku misango egyekuusa ku kulya mu nsi olukwe olwaleero kkooti enkulu e Masaka ebakkiriza okweyimirirwa ku obukadde bwensimbi 20 buli omu obutali bwabuliwo.

Ssegirinya ne Ssewanyana wamu n’abalala bataano okuli Mike Sserwadda, Jude Muwonge, Bull Wamala, John Mugerwa ne Jackson Kanyike, bavunaanibwa emisango gy’obutemu, okugezaako okutta abantu, n’okuyambako mu butujju ebyava ku butemu obwaliwo mu 2021 mubendobendo lye Masaka okwaleka abantu 20 nga bafudde.

Emabegako, kkooti yagaana ababaka ba Palamenti Joseph Gonzaga Ssewungu, Ibrahim Semujju Nganda, meeya Ali Kasirye Mulyanyama, Moses Kabuusu ne Florence Namayanja abaali bazze okweyimira abasibe bano lwabutaba nabbaluwa za LC1.

Wabula oluvanyuma lwokutukiriza obukwakulizo bwa kkooti bakkirizibwa okweyimirira abasibe era buli omu alagibwa okusasula obukadde 50 obutali bwa buliwo n’okutereka paasipooti zaabwe mu kkooti okutuusa nga waliwo ebiragiro ebirala.

Abeeyimiriddwa era balagibwa obutayingirira  kunoonyereza kwa poliisi mu musango gwabwe.