Amawulire

Abe Kalerwe basobeddwa

Ali Mivule

January 13th, 2014

No comments

Kalerwe fire

Abasuubuzi bomu katale ke Kalerwe basobeddwa eka ne mu kibira.

Nga bakyanyiga biwundu olw’akatale kaabwe okukwata omuliro ,kati ate enkayaana z’ettaka zibaluseewo.

Kino kiddiridde amawulire agafulumye ng’erimu ku ttaka okutuula akatale kano bweryatundibwa nga era ab’okusinga okukosebwa beebakolera mu zooni emanyiddwa nga Mutebi.

Abamu ku basuubuzi bagamba nti kikafuuwe okwamuka akatale kano nga kati bawanjagira gavumenti eyingire mu nsonga zaabwe.

Ebintu ebibalirwaamu bukadde n’obukadde byebyasanyeewo oluvanyuma lwekimu ku kitundu kya katale kano okukwata omuliro.