Bya Emmanuel Ayinebyona.
Government etegeezeza nga bwerina entekateeka ey’okubaako abasawo bereeta okuva mu mawanga nga China ne Cuba abasoba mu 200 bajanjabe banna-uganda.
Mukaseera kano tutegeezeddwa nti government etadewo akakiiko ak’enjawulo nga akulirwa ,minister w’ebyobulamu Dr Jane Achieng okukola ku nsonga eno mubanga tono ddala.
Akakiiko kano kasubira okulambika emirimo gy’abasawoo bano abagenda okuletebwa,obukugu obubeetagibwamu,kko n’engeri gyebagenda okukolaganamu n’abasawo abaawano.
Twogedeko ne Mminister Jane Dr Acheng n’agamba nti kituufu ensonga eno etesebwako, wabula nga abasawo abaleetebwa tebagenda kutwala kifo ky’abasawo ba uganda, wabula kubayambako.
Twogedeko ne Dr. Mukuzi Muhereza nga ono ye ssaabawandsiisi we ekibiina ekya Uganda Medical Association ekitaba abasawo bano, n’agamba nti tebaamaze kubeebuuzako , era nga tebamanyi kigendererwa kya government .