Bya Ruth Anderah
Poliisi ate yefukuludde nedamu n’ekwata omu ku basajja 7 abateberezebwa okutta eyali omwogezi wa poliisi mu gwanga omugenzi Andrew Felix Kaweesi, ababadde bakayimbulwa.
Amakya ga leero abantu 9 bebalabiseeko mu maaso gomulamuzi wa kooti ye Nakawa Noah Ssajjabi okukakana nga musanvu kubano abakirizza okweyimirirwa bawoze nga bava bweru.
Kati getwakafuna galaga nga omu kubaano Ahmed Senfuka ate bwakatiddwa ngadda ewaka.
Ono abamukutte bamuteegedde wali ku spear motors e Nakawa.
Bano omulamuzi abateeredde ku kakalu ka kooti ka bukadde 50 ezitabadde za buliwo, songa ababeyimiridde bawadeyo obukadde 500 ezitabadde za buliwo.