Bya Moses Kyeyune
Katemba alabikidde mu kakiiko ka palamenti akebyamateeka, ababaka bwebatabukidsde ssentebbe waabwe okubeera ne kyekubiira, mbu abadde alina engeri gyattira ku liiso abajulizi.
Akakiiko kano nga kakubirizibwa omumyuka wa ssentebbe waako, omubaka Robinah Rwakoojo olwaleero kabaddi kagasimbaganye ne ssbaminista we gwanga Dr Ruhakana Rugunda nga kagenda mu maaso okwekennenya ebbago lyomubaka ssekinoomu, owa Igara West Rapheal Magyezi erirubiridde okuvva ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.
Eno ababadde bwebakunyizza ssbaminista abeeko byayanukula, ate Rwakoojo nabaako byabakomako, ababaka kyebawakanyizza, ngekivuddemu kubadde kudwadwalikana.
Mu biralala ssabaminista we gwanga Dr.Ruhakana Rugunda akakasizza akakiiko kano, nti tewalai kawayiro kakabe akawatirwa konna akakukusibwa oba okukasomola okukateeka mu ssemateeka we gwanga.
Ebigambo bya Rugunda bino bikontanye nebyayogerwa omumyuka wa ssabawandiisi wekibiina kya NRM, Richard Todwong eyategeeza akakiiko kekamu nti ennyingo 102(b) eyogerwako yakukusibwa bukukusibwa okujiteeka mu ssemateeka we gwanga, mu lukiiko olwa Constituent Assembly.
Rugunda, nga yoomu ku baaali batuula ku lukiiko lwa CA ategezeza ababaka nti buli ekiri mu ssemateeka kyekyo ekyalowozebwako.