bya Damalie Mukhaye
Ekibiina kya Forum for Democratic Change kiriko abakulu 1,200 bebakaksizza bayite ba delegates abagenda okulonda, presidenti wekibiina nga November 24th mu kisaawe Namboole.
Bwabadde ayogera ne banamwulire e Najjanakumbi ku wofiisi zekibiina, akulira ebyokulonda mu FDC Dan Mugarura ategezeza nti abagenda okulonda mulimu ba abakulembeze bekibiina kuzi district, ba mayor, ababaka ba palamenti, abakulembeze babavubuka nabakyala, abatandisi bekibiina neba memba ba NEC.
Ategezeza nti bakalabalaba oba ba yagenti abesimbyewo 5 bamaze okuakakasibwa, kalenga buili kimu kiri mulaala.
Abesimbyewo abegwanyiza Entebbe kuliko Maj Gen Mugisha Muntu, Patrick Amuriat, Dan Mastiko, Moes Byamugisha ne Mubarak Munyagwa.