Skip to content Skip to footer

Omubaka Mpuuga alondenddwa akukulembera abavuganya gavumenti

Bya Ritah Kemigisa

National Unity Platform, ekibiina ekikulembera oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti balangiridde gavumenti eyekisikirize.

Omubaka wa Nyendo Mukungwe, Mathias Mpuuga yalondeddwa okukulembera oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti.

Omubaka we Manjiya, John Nambeshe yagenda okubeera nampala wababaka aboludda oluvuganya gavumenti ngamyukibwa omubaka omukyala owe Jinja Manjeri Kyebakutika.

Omubaka wa munisipaali ye Mityana Francis Zaake alondeddwa nga kamisona wa palamenti, atenga omubaka wa Busiro East Medard Segona yagenda okukubiriza akakiiko aka Public Accounts committee, akalondoola ensasanye yensimbi mu bitongole bya gavumenti.

Omubaka wa Nakawa East, Joel Senyonyi alondeddwa okubeera ssentebbe wakakiiko ka COSASE nga wakumyukibwa Lucy AKello.

Abalala, omubaka wa Mukono Betty Nambooze alondeddwa okukubiriza akakiiko aka Government Assurances committee and amyukibwe omubaka Joseph Sewungu.

Ojara Mapensuzi abadde ssentebbe wa disitulikiti ye Gulu, bamuwadde bwa ssentebbe owakakiiko aka gavumenti ezebitundu, wakumyukibwa munna DP Luttamaguzi Ssemakula.

Omubaka omukyala owa Kassanda Flavia Kalule wakukiika mu Inter parliamentary Union atenga Patrick Nsamba bamusindise mu Pan African Parliament.

Omubaka wa Busuuju, David Lukyamuzi wakukiika mu Commonwealth Parliament Association.

Leave a comment

0.0/5