
Abasawo ba ttiimu y’eggwanga the Cranes bakwekenenya obuvune bw’abazanyi Farouk Miya n’omukwasi wa goolo Ismail Watenga bwebafunye mu mupiira gwa Mali.
Omusawo wa ttiimu Ronald Kisolo agamba bakubekebejja mu ssaawa 48 okulaba oba banasobola okusamba omupiira oguddako ne Zambia ku lwomukaaga.
Anyonyola nti Miya y’amumiziddwa mu kibegabega sso nga Watenga yandiba nga yayuzizza ekinywa bweyabadde asimula omupiira.
Uganda baagudde maliri 2-2 ne Mali mu mupiira gwabwe ogwaguddewo mu kibinja D.