Skip to content Skip to footer

Abayizi abalala batikkiddwa

File Photo: Abayizi ba  nga batikidwa
File Photo: Abayizi ba nga batikidwa

Abayizi abatikiddwa ku ttendekero ekkulu e Makerere basoomozeddwa okufuba okulaba nga batuukiriza ebirubirirwa byabwe .

Ku lunaku olwokubiri olw’okutikira, ssenkulu w’ettendekero lino Dr Ezra Suruma ategezezza nga ensi kati bwejudde okuvuganya kale nga abatikiddwa basanye okwewala okutuukiriza ebinabayamba okwekulakulanya.

Wabula ateegezezza nga bwekijja okusoboka singa babaeera bambisa, b’aamazima nga era basobola okukola emirimu egitali gimu.

Mungeri yeemu asabye abayizi okuyamba ku mirimu eginayamba abantu bonna ababetolodde okuvunuka ebizibu byabwe nga wano tebajja kulemererwa kufuna mirimu.

Leave a comment

0.0/5