Bya Benjamin Jumbe
Olukiiko lwekibiina kya NRM olwa waggulu, olwa Central Executive Committee lugenda kuddamu okutuula olunnaku olwaleero.
Okusinziira ku ssabawandiisi wekibiina Justine Kasule Lumumba ebimu ku byebagenda okutesaako ye neyisa yabadde sipiika wa plamenti Rebecca Kadaga, eyayawukana ku kusalaow kwekibiina navuganya nga namunigina nate kubwa sipiika.
Kadaga yavuganya wabula nawnagulwa Jacob Oulanya, kati Lumumba agambye nti bagenda kuddamu okwkenneya ebyo ebyatesebwako mu lutuula oluwedde.
Wabula alabudde bannakibiina, bewale ebigambo ebyobukambwe mu mawulire ebitatana abalala mu mbeera eno, eriwo.