Bya Damalie Mukhaye
Presidenti wekibiina kya FDC omugya Patric Amuriat Oboi asubizza nga bwagenda okunyweza ekibiina kya FDC bumu.
Ategezeza nti alina enteakteka ezokutabaganya bana-kibiina abekutuddemu mu kaseera kano, nga waliwo nabatali bamativu olwebyo ebyava mu kulonda.
Bino byebimu ku bibadde ebigambo bye, bwabadde yakalayira, nga presidenti wekibiina, okudda mu bigere bya Gen Muntu, omukolo ogubadde ku wosiis zekibiina e Najanankumbi.
Ate abadde presidenti wekibiina Gen. Mugisha Muntu awaddeyo office mu butongole wofiis eri amudidde mubigere Patrick Amuriat numukittira okukuuma emirembe mu kibiina.
Muntu ategezezza nti wakati mu kusomoza okubadde mu kibiina agezezaako okulaba nga basigal bumu nga Amuriat.
Mungeri yemu asubiiza okwagira nokwatira awamu nomukulembeze omujja okulaba nga balwanyisa obwanakyemarira bwekibiina ekiri mu buyinza nga ekye NRM.