Skip to content Skip to footer

Abantu tebamanyi SDGs

Bya Ivan Ssenabulya

Ebibitongole byobwanakyewa bisabiddwa okwongera amanyi mu kumanyisa abantu ku birubirirrwa byensi awamu, zebatuuma Sustainable Development Goals.

Omulanga guno gwegubutikidde, okukubaganya ebirowoozo, kwabavubuka okwategekeddwa banakyewa okubaddeewo olwaero wano mu Kampala.

Obutamanyisa abantu babulijjo ku nsonga zino, kyogeddwako nti muziziko gwamanyi okutekesa ebirubirirwa bino mu nkola.

Wabula bwabadde ayogera ne banamawulire wali e Ntinda, akulembeddemu ebitongole byenjawulo Ali Kaviiri agambye nti buvunayizbwa bwa buli omu, okwetaba mu kawefube ono bwanabaaba wakutukibwako mu 2030.

Leave a comment

0.0/5