Skip to content Skip to footer

Olw’okutaano lulangiriddwa nti lwa kukungubaga

Bya Kyeyune Moses

Gavumenti erangiridde olunnaku lwokutaano ngennaku zomwezi 30, olunnaku olwokukungubaga olwabantu abwerako abaafiridde mu Nyanja Nalubaale, mu gandaalo erya Sabiiti.

Kino kirangairiddwa omumyuka wa Ssabaminista we gwanga asooka Gen Moses Ali mu lutuula lwa palamenti olubaddewo akakwungezi kano.

Kitegezeddwa nti wofiisi za gavumenti zonna zakuggalwa, mu gwanga.

Omuwendo gwabantu ogutanakaksibwa bebafiridde mu lyato eryabbidde mu Nyanja, ku Mutima Beach mu district ye Mukono ku Lwomukaaga.

Poliisi egamba nti bakazulako emirambo 31, 26 bebanunuddwa songa kisubirwa nti eryato lyaliko abantu abasoba mu 100.

Ate palamenti etanudde okubanja alipoota ku ngeri polojekiti, eyobuwmbi bwa 53, ensimbi ennewole, gyetambulamu, eyali yalubirira okusaawo ebiffo ku Nyanja Nalubaale awayinza okuva poliisi mu bwangu okudukiriranga abantu abali mu buzibu.

Ensimbi zino zayisbwa mu 2017 nekirubirirwa okulongoosa eku byemplizganya ku mazzi.

Loan okuva mu African Development Bank, gavumenti yagamba nti yali yakusaawo ebiffo 16 ku Lake Victoria.

Mu lutuula lwa leero omukubiriza wa palamenti Jacob Oulanyah ajjukizza ababaka, ku ssente zino.

Leave a comment

0.0/5