Amawulire
Ababade bagoberera omusango gwa Kirumira abagala Kalungi agibweko emisango
Bya Ruth Anderah,
Abantu babulijjo abaludde nga batunuulira empozesa y’omusango gw’okutemulwa kw’eyali omusiirkale wa Poliisi Mohamad Kirumira bawadde Kkooti enkulu mu Kampala amagezi okwejjereza Abu-Baker Kalungi nga ye musibe omukulu gwebalumiriza okutemula Mohammad Kirumira eyali omusirikale wa Poliisi eyattibbwa mu bitundu by’e Bulenga.
Bano okuli Jackline Nafula ne Jackline Nabuufu bawaddeyo endowooza yabwe eri Omulamuzi Margret Mutonyi ono ng’oluvanyuma ategeezezza nga bwajja okuwa ensalawo ye kunsonga eno nga 24th/April/2023.
Bano bategeezezza nga ebbanga lyebamaze nga abagoberera omusango guno, tebamatidde nti ddala Muhumuza yazza omusamngo ogumuvunaanibwa.
Kirumira yattibwa 8/09/2018 mu bitundu by’e Bulenga nga yakubwa masasi nomuwala Resty Mbabazi agambibwa nti yali akola ku mobile money mu kitundu kyekimu we babattira.