Nga sizoni ye nsenene esembera, ekitongole ekibunyisa amasanyalaze ekya UMEME kitaddewo obukwakulizo obukakali obulina okugobererwa abakwasi baazo mu bitundu bye Masaka.
Akulira UMEME mu kitundu ekyo Petra Kyalisima ategezezza nti buli agenda okukwata ensenene alina okwewandiisa mu bakulu b’ekyalo kubanga amasanyalaze g’ebalobako gamutawaana
Kati ssentebe w’abasenene e Masaka Quraish Katongole, agamba obukwakulizo buno bwandiremesa bangi omulimu gw’okukwata ensenene.