Skip to content Skip to footer

Poliisi yakuva ewa Besigye

 

kai

Kyaddaaki poliisi yakuva mu maka ga Besigye

Ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura alagidde  adumira poliisi ye Kasangati James Kwalya aggye mangu abaserikale mu maka ga Besigye ne mu kuno erigenda ewuwe.

Wabula Kayihura ategezezza nga bwebagenda okulondoola Besigye aleme kukyankalanya mbeera.

Agamba Besigye bw’aba alina kyeyemulugunyako agende mu kkooti nga Mbabazi aleme kutabangula mirembe n’okuteeka eggwanga ku bunkenke.

Mungeri yeemu alabudde abavubuka abakozesebwa mu kwekalakaasa nti bakukwatibwa.

Wabula waddenga biri bityo, nga Ssabapoliisi alagidde abasirikale okujjibwa ewa Besigye tutegezeddwa nti abaserikale bakyali mu maka ga Besigye.

Eno omusassi waffe Damalie Muhaye gyali…aliko byatubulidde.

Leave a comment

0.0/5