Bya Damalie Mukhaye.
Ekitongole kya police ekikola ku by’empisa mu police mwenyini ekya Professional standards unit kifulumiza alipoota nga eno eraze nga abaserikale abakola mu Kampala n’emiriraano bwebakyakize okulya enguzi.
Vacent Ssekate nga ono yayogerera ekitongole kino agambye nti ku misango 1000 egy’obuli bw’enguzi eggyazulibwa ekitongole kino wakati wa January – ne June omwana guno 469 gyazzibwa wano mu Kampala.
Ono agamba nti Police ye Katwe ne CPS zezikize okubaamu emisango gino , songa Kabale ne Moroto wewasinga obutaba balya nguzi.