Bya Damalie Mukhaye
Olukiiko olufuzi olwekibiina Kya FDC lusazeewo kugenda mu kooti yansi yonna kubikolobero ebikolwa police mu gwanga ku banna byabufuzi abavuganya gavumenti.
Bino byanjudwa ssabawandiisi we kibiina Kya FDC Nathan Nandala Mafabi mu lukungaana lwabanna mawulire olutudde e Najjanankumbi.
Mafabi agambye ssemateeka akirambika bulungi nti buli muntu wa ddembe okugenda mu kitundu kyonna kyayagala mu gwanga lye naye kibeewunyisa police okuziyiza abavuganya gavumenti ate aba NRM ekibiina ekifuga, tebakwatwako okujjako okubatitibya.
Mafabi agambye nti nga tebanagenda mu kooti yansi yonna bagala kooti zaawano zitandike okukola mu mbeera eri mu gwanga okutereeza ekifananyi kye ssiga edamuzi kyagamba nti kyafa dda.