Amawulire
Leero mazaalibwa ga Ssaabasajja
Bya Prossy Kisaakye. Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda ku kabaga akamutegekeddwa okukulizaako amazaalibwa ge ag’omwaka 68.
Akabaga kano kagenda kubeera mu Lubiri lwa Ssaabasajja leero nga abantu ab’olubatu bebayitiddwa okugyetabako.
Okusinziira mu Minisita avunanyizibwa ku mirimu egy’enkizo mu bwakabaka bwa Buganda era nga ye Ssentebe w’olukiiko oluteeseteese omukolo guno, Owek. David Mpanga, ng’Obuganda busiimye ggulu ddene olw’obulamu bwa Ssaabasajja natuuka n’okuyingira mu byafaayo ngaKabaka asinze okuwangaala mu Buganda.
Omuteregga yazaalibwa Namasole Sarah Kisosonkole Nalule ne Kabaka Muteesa II nga 13.04.1955 mu dwaliro e Mengo.
…………….