Skip to content Skip to footer

Police ya uganda ezeemu okulabula ku butujju.

Bya Samuel Ssebuliba.

Banayuganda bajjukiziddwa okuddamu okubeera abeengendereza ku bikolwa eby’obutujju, oluvanyuma lw’abakambwe aba Al-shabab okuddamu okukuba egwanga lya Kenya  akawungezi ak’eggulo.

Kinajukirwa nti abatujju bano baalubye  kibuga ekikulu Nairobi, nebatta abantu abwerako mu Hotel emanyiddwa nga Dusit, kko nokuwamba abalala abakyali munda.

Bwabadde ayogerako naffe akulira poliisi n’omuntu wabulijjo Asan Kasingye agamba nti kino kirina okuba ekyokuyiga eri Uganda, nti abatujju bano tebaneebaka, era bakyali ba bulabe.

Asabye abantu okubagulizanga ku poliisi mu bwangu, singa balaba ekintu oba omuntu yenna gwebatekakasa.

 

 

Leave a comment

0.0/5