Skip to content Skip to footer

Abaana abatikiddwa baakukola bwa diikuula.

Bya Damali Mukhaye.

Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni aliko amagezi gaawadde abayizi abatikiddwa olunaku olwaleero, nga bano abategeezeza nti mukifo kyokunonya  emirimo bagende mu kuyimba oba okutandika okukola obwa kazanyirizi .

Bwabadde eyogerera ku matukira g’omwaka guno ag’okumala enaku 4 , e Makerere president agambye nti buli baana lwebatikirwa balowooza ku byakukola mu office, kyoka nga emirimo gifumbekedde mubifo  byebanyooma gamba nga okuyimba oba okukola obwa diikula.

Ono asonze ku bantu nga omubaka Kato Lubwama baagambye nti  bakoze ensimbi nebakatagga, kyoka nga mpaawo kyebakola okujjako obwa diikula

Bwatuuse ku basomye ebya science abagambye nti bano bagwana bakomye okukaaba emirimo kubanga  egwanga lyetaga abasawo 80,000 kyoka nga mukaseera kano tulinawo 5,000 bokka

Leave a comment

0.0/5