Bya Ritah Kemigisa.
Ekitongole ekikola ku by’abamusiga kitegezeza nga bwekyetaga ensimbi endala okugula etaka e Namanve kyongere ku bugazi bwekibangirizi kyabanamakolero.
Bwabadde eyogerera mu kakiiko akakola ku byensimbi akalanga akulira ekitongole kino Lawrence Byensi agambye nti babade beetaga obuwumbi obulala 250 mu budget y’omwaka 2019- 2020 okugula etaka eriweza acre 446, kyoka kyanaku nti zino ensimbi tezibawereddwa
Wabula kino kitabudde ababaka okubadde ne ssentebe w’akakiiko kano Henry Musasizi nga bagamba nti tekigasa okugula etaka eddala, kyoka nga nekibangirizi ekyasooka tekinajjula
Mukwanukula minister omubeezi akola ku by’ensimbi David Bahati abagambye nti situgaanye ekibangirizi tekinajjula, naye bamusiga nsimbi bebasuubira tebagenda kujja mu kifo kakano kyebalina.