Amawulire
Akakiiko kébyókulonda katandise ku nteekateeka ejjuza ekifo kyómubaka owa Yam North mu Paalamenti
Akakiiko kébyókulonda aka Electoral Commission leero katandise okuteekateeka okuddamu okulonda okw’okujjuza ekifo kyómubaka mu Parliament owa Oyam North ekisangibwa mu district ey’e Oyam.
Ekifo kino kyasigala tekirina mukiise oluvanyuma lwéyali omubak waakyo Charles Okello Engola okukubwa amasasi omukuumi we agamuttirawo mu maka ge e Kyanja ku njego yego zékibuga ekikulu Kampala. Nga 02/05/2023.
Olunaku lwa leero, akakiko kébyókulonda omulimu guno kagutandikidde nakuzza bujja olukalala lwábalonzi.
Kino akakiiko kagenda kukikola okukoma nga 22/05/2023 nga mukiseera kino omulonzi ajja kuba waddembe okukyusizaamu ekifo walonndera okuva mu kifo ekimu okudda mu kifo ekilala.
Omwogezi wákakiiko kébyókulonda Paul Bukenya, atubuulidde nti omulimu gwókutimba enkala gwegujja okuddako nga gwakukolerwa ennaku 10 okuva nga 30/05- 8/06 mu bifo byonna 167 ebilonderwamu mu Oyam North.
Mu buufu bwebumu, okutimba ebilowoozo byákakiiko ku baani abasanye okuwandukururwa mu lukalala kwo kwakukolebwa okumala ennaku 6 okuva nga 8/06- 13/06 ku buli mbuga ya muluka.
Bukenya ayongera okunyonnyola nga okusunsula abegwanyiza ekifo kujja kubeerawo nga 19 ne 20/06 ku offiisi yákulira ebyókulonda.
Kwo okulonda nókugatta obululu kujja kubeerawo nga 6/07 ku bifo byonna awabadde okulonda nóluvanyuma ebikuvuddemu bilangilirwe ku kitebe kyákakiiko kébyókulonda.