Amawulire

Okulonda kugenda mu maaso mu Oyam North, yadde enkuba ekutataganyizaamu

Okulonda kugenda mu maaso mu Oyam North, yadde enkuba ekutataganyizaamu

Ivan Ssenabulya

July 6th, 2023

No comments

Bya Bill Oketch,

Abalonzi 93,000 babukeereza nkokola enkya ya leero okugenda okusuula akalulu kabwe mu kudamu okulonda omubaka wa palamenti akikirira abé Oyam North mu disitulikiti yé Oyam.

Okulonda kutandise ssaawa emu yennyini eyókumakya era kusuubirwa okufundikirwa ku ssaawa 11 ezólweggulo, wabula kutataganyizibwamu ekire kyénkuba ekedde okufudemba mu bitundu ebyénjawulo.

Abantu 9 bebalaga obwagazi mu kifo kino wabula akakiiko ke byokulonda kayisaamu 4.

Omuwanguzi wa kudda mu bigere byeyali minisita wa bakozi Charles Engola, eyattibwa omukuumiwe mu mwezi ogwo 5.

Abali mu lwókaano kuliko abasajja 3 nómukyala omu; Daniel Okello owa National Unity Platform, Samuel Engola owa National Resistance Movement Dr Eunice Apio Otuko owa Uganda People’s Congress, ne Newton Freddy Okello owa Forum for Democratic Change.

Mungeri yemu akakiiko ke byokulonda nábébyókwerinda bakkakasiza ngókulonda kuno bwekugenda okuba okwemirembe ate nga kulimu obukuumi bwonna obwetaagisa.