Bya Ruth Anderah
Kooti ya Buganda Road eriko omusajja gwesibye ennaku 42 olwokubba side mirror yemmotoka.
Ismail Nsamba owemyaka 29 ngatunda ngatto enkadde, omulamuzi Fedelis Otwoa yamuwadde ekibonerezo kino oluvanyuma lwokukriza omusango ogumuvunanibwa.
Okusinziira ku mpaaba eri mu kooti, Nsamba yakwatibwa nga 9 June 2021 ku Kampala road ngabba endabirwamu ku mmotoka kika kya Toyota Harrier eya Golooba Lwanga.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Peter Mugisha lugamba nti endabirwamu zino zaali zibalirirrwamu emitwalo gya Uganda 50.