
Mu disitulikiti ye Mbarara abantu 3 bafudde oluvanyuma lw’omuyaga ogwamaanyi okusuula ekanisa y’abalokole n’ebabutikira mu gombolola ye Kashari.
Aduumira poliisi ye Mbarara Jaffer Magyezi akakasizza akabenje kano wabula n’anenya nyo bananyini kanisa eno olwokuzimba ekizimbe ekinene naye nga tekuli mpagi nywevu.
Abagenzi bategerekese nga Jane Kyofuna, Edrai Kyomuhendo ne Annet Mwesigwa .