
Bannakibiina kya DP e Masaka bazimudde ekiragiro kyokubawumuza nebalemera mu ofiisi.
Ku lwokutaano oluwedde , ssentebe w’ekibiina kya DP e Masaka Fred Denis Mukasa Mbidde y’awumuzza abakulu 6 ku bigambibwa nti ba tebagoberera ssemateeka w’ekibiina.
Abaawumuziddwa kuliko Dick Lukyamuzi Ssenyond,ssentebe wa Bukoto East Constituency, Deo Maweje , John Bosco Nawandagala , Aisha Nakitende, wamu ne Kibula Ntesibe mu lukungaana lwebatuzizza ku kitebe ky’ekibiina e Masaka, omukaaga bano nga bakulembeddwamu Dick Lukyamuzi begaanye eby’okusatirira ssemateeka w’ekibiina era nebategeeza nga Mbidde bw’atalina buyinza kubagaana kukola mirimu gyakibiina.
Wabula Mbidde akalambidde nti bano bazze bamenya ssemateeka w’ekibiina kale nga balina okuwumuzibwa emyezi 3 nga tebakola mulimu gwakibiina gwonna.