
Waliwo ekibinja ky’abawagizi b’ekibiina kya NRM okuva mu Rubaga South abalumbye ekitebe ky’ekibiina kyabwe ku luguudo lwa Kyaddondo nga baagala ebyavudde mu kubala obululu bisazibwemu nga balumiriza nti mwabaddemu okubbira.
Akakiiko k’ebyokulonda ek’ekibiina kya NRM kategezezza nga welunazibira olunaku olwaleero nga ebyavudde mu kulonda kw’akamyufu byonna bimaze okulangirirwa.
Amyuka omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kino John Kijaagi agamba okulonda kwabadde mu disitulikiti 92% nga era abyavudde mu kulonda kuNo bikyaggya.
Kijaagi agamba nti ewaabadde emivuyo okulonda kwakuddibwamu olunaku lw’enkya okugyako e Namutumba abalonda olwaleero.
Kijaagi agamba akakiiko akakulemberwa Alhajji Moses Kigongo kakutekebwawo okutabaganya abanaaba balina okwemulugunya.
Omubaka wa disitulikiti omukyala Dorothy Mpima aganye okukkiriza nti yawanguddwa era wakwesimbawo nga atalina kibiina.
Bino Mpiima abirangiridde ku kitebe kya NRM ku disitulikiti oluvanyuma lw’omuyimbi Judith Babirye okumumegga.
Mpima alumiriza ab’ebyokwerinda okumulwanyisa nga bagulirira abalonzi.
Wabula ye omuwandiisi w’ekibiina ku disitulikiti James Wasswa ategezezza nga okulonda bwekubadde okwamazima.
Ku kifo ky’omukiise we Bukwe, abadde omubaka Baker Ssali awanguddwa Sozi Mulindwa
Agava e Mukono galaga nga meeya Muyanja Ssenyonga bw’amezze Bakaluba Mukasa oluvanyuma lw’enkaayana ezibaddewo mu kubala obululu.
Wano mu kampala akulira ebyokulonda Milton Omuruga alangiridde abaangudde Minsa Kabanda nga omuwanguzi wa Kampala Central wamu n’abalala.
Mungeri yeemu twogeddeko n’abamu ku bawanguzi okuli Ragadee eyawangudde akamyufu ka loodi meeya ne Katongole Singh owa Rubaga North.
Enkayaana mu kamyufu k’ekibiina kya NRM e Kayunga ziwalirizza amyuka ssentebe w’ekibiina kya NRM Alhajji Moses Kigongo okubiyingiramu.
Wabula tekiyambye nyo oluvayuma lw’okubalibwa kw’obululu nga tiyagaasi anyooka.
Agava mu buvanjuba bw’eggwanga galaga nga minisita Daudi Migereko akamyufu bwekamumezze.