Skip to content Skip to footer

Gwebamenyedde omudaala alumbye KCCA

KATALEWabaddewo katemba ku kitebe ky’ekitongole kya KCCA wano mu Kampala, omukyala bwagumbye awo nabamaka ge nganenya abekitongole ekitwala ekibuga okumenya omudaala gwe.

Nassazi Annet omutuuze mu bitundu bye Kisaasi, nga nakazadde w’abaana 4 yekalakasizza ngalaga obutali bumativu oluvanyuma lwabakwasisa amateeka mu KCCA okumenya omuddaala gwe wali katale ka Usafi ku Kalitunsi ku luguudo lwe Entebbe.

Nassazi agamba azze yekubira enduulu mu bakulu ba KCCA kyokka natayambibwa. Agamba talina kyakuliisa baana be nga kati ayagala akulira ekibuga Kampala ne President Museveni bamuyambe.

Abasirikale b’ekitebe kya KCCA abasajja basoose okwagala okumugobaganya kyokka bwakalambidde nebayita abasirikale abakyala nabo abasoose okumulemererwa okumusigukulula ngagamba mukyala Jennifer Musisi y’abadde ayinza okumujja mu kifo.

Kati oluvanyuma omukyala ono ne zzadde lye eribadde lyambadde Uniform zamasomero gyebasosomera batwaliddwa munda muzzi wofiisi za KCCA.

Leave a comment

0.0/5