Oluvanyuma lwokulwanagana okudda mu ggwanga lya South Sudan, Uganda eyiye amagye ku nsalo eyawulo amawanga gombi okwewala okulwanagana okuyingira mu nsalo zaayo.
Okulwanagana kwazzemu ku lwokutaano lwa sabbiiti ewedde nga amagye g’omukulembeze w’eggwanga Salva Kiir n’agakiririza mu mumyukawe Riak Machar bwegegudde mu malaka.
Amagye ga Riek Machar galumiriza aga gavumenti okulumba enfo zaabwe.
Mu 2014 bwewaliyo okulwanagana Uganda yayanguwa okusindikayo amagye wabula kuluno omwogezi w’amagye ga UPDF Lt. Col Paddy Ankunda agamba tebalina kirowoozo ekyo okugyako okukuuma ensalo za Uganda.