Amawulire
Ensimbi mu bakulembeze zitambudde FDC
Bya Mike Sebalu
Omwogezi w’ekibiina ki Forum for Democratic Change Ssemuju Ibrahim Nganda, ayagala abamu ku bakame be baveeyo bannyonyole ensimbuko y’ensimbi ezitamanyiddwa muwendo eziyitingana nga zibaviiriddeko okweluma luma n’okwawulayawula mu kibiina.
Ssemuju agamba nti ensimbi ezibabobbesa omutwe, zayingira dda mu kibiina kino wabula nga ziyingira mu ngeri ya kawundo kakubye eddirisa mu biseera eby’okulonda okwa bonna.
Agamba nti kyandibadde nakyabuvunanyizibwa kino nekikolebwa ng’okulonda kw’omunda mu kibiina tekunabeerawo okusobola okuleetawo obweelufu.
Okwogera bino, abadd ayogerera mu lukungaana olusonda ebilowoozo olwa ba memba olutuuziddwa ku sharing hall e Nsambya nga negyebuli eno lukyagenda mu maaso.